Weekenneenye obulamu, okukkiriza n’Amakulu

Alpha ze’kkoosi za wiiki eziwera, ku mitibangano oba mu buntu, ezitondawo ekifo abantu we bajja ne beekenneenyeza obulamu, enzikiriza na’makulu.

<< Back to English

Alpha kye ki?

Alpha ze ntuula ez’omuddiringanwa, ezinoonyereza ku nzikiriza y’Ekikristaayo. Buli mboozi etunuulira ekibuuzo eky’enjawulo ekyetoolodde okukkiriza era ekoleddwa okutondawo emboozi. Alpha eddukanyizibwa okwetoloola ensi yonna era buli muntu ayanirizibwa. Etambulira ku yintaneeti, mu cafe, mu makanisa, yunivasite, awaka —ooba ekifo kyonna ekye’ngeri eeyo! Tewali Alpha bbiri zifaanagana, naye okutwalira awamu zirina ebintu bisatu ebikulu bye zifaanaganya: okusembeza abagenyi, okwogera, ne’emboozi ennungi.

Alpha en français

Olukungana lwa Alpha lufanana lutya?

Okukwatagana

Oba mu buntu ng’oli ku mmere oba mu ngeri ye’mikutu emigatta bantu ng’onywa caayi, emisomo gyonna gitandika n’obudde obwa’okukwatagana, okuwummulamu n’okuzimba emikwano. Okulya emmere nga tuli wamu kireeta ekifo abantu we bayinza okukwatagana n’okugabana obulamu ku ssa ery’obuziba.

Find-an-alpha

Okwekkaanya

Emboozi za Alpha zitegekeddwa okutwalira awamu  abantu okuva mu buli mbeera yo’bulamu n’okusikiriza emboozi. Beekeneenya ensonga ennene ez’obulamu era ne battaanya emisingi gy’enzikiriza y’Ekikristaayo, nga bakola ku bibuuzo nga “Yesu y’ani?” ne “Katonda atulungamya atya?”

Okukubaganya Ebirowoozo

Obudde bw‟okukubaganya ebirowoozo mukisa eri abantu okuddamu emboozi, okuwulira okuva eeri abalala n’okuwaayo endowooza yaabwe mu ngeri ey’obwesimbu, ey’omukwano era nga njerufu.

Alpha Youth Talks Africa erina ebigambo ebijuliziddwa mu Luganda

Ntandika ntya?

Buli kimu kyewetaga okuddukanya Alpha kiri ku mutimbagano era kya bwereere okukiwanulayo buli omu asobole okukola ekitundu mu kulaba obulamu nga bukyusiddwa.

MyAlpha kye kibanjja  kyoyitako okuteekateeka omusomo gwo ogwa Alpha; kiyina bulikimu okuva ku bikozesebwa mu kutendekebwa n’ebikozesebwa mu kutumbula, okutuuka ku butambi bwa buli kitundu.

Tegeka Alpha yo

Wandiisa Alpha yo osobole okuteekateka okutendekebwa kwa ttiimu yo, emisomo gya Alpha ne Alpha time away. Okuva wano osobola n’okuyita ttiimu yo ku MyAlpha n’ofuna ebikozesebwa byonna eby’okutumbula. Kakasa nti olanga Alpha yo abantu basobole okugifuna.

Tendeka Ttiimu yo

Ekifo eky’okuyiga kirimu obutambi obujja okukubangula gwe ne ttiimu yo n’okuddukanya obulungi Alpha. Bino bikuŋŋaanyiziddwa mu modulo ez’okuddukanya Alpha mu mbeera yonna, okuva ku Bavubuka okutuuka ku Bakatoliki, osobole okuteekebwawo okutuuka ku buwanguzi.

Tumbula Alpha yo

Funa obutambi bwonna obw’okutumbula, ebiragiro n’ebikozesebwa mu “kitundu ky’okutumbula” okutumbula omusomo gwo ogwa Alpha mu kkanisa yo, mu kitundu kyo ne ku mikutu gya yintaneeti. Tewerabira okukubiriza ekibiina kyo okuyita mikwano gyabwe.

Weetegekere Olutuula 1

Mu kwetegekera Alpha yo osobola okuwanula entuula za vidiyo ne biwandiiko, n’ebiragiro by’okukubaganya ebirowoozo ku ttiimu yo n’abagenyi mu kitundu ‘Ekiddako’, oba ekitundu ‘Ebikozesebwa mu lunyiriri’. Okoze bulungi, kati oli mwetegefu okuddukanya Alpha.

Enjiri ya bwereere – So ne Alpha

Skip to content